Poliisi ekutte omuntu omu ateberezebwa nti yenyigidde mu kwokya ekisulo ky’abayizi abalenzi ku ssomero lya Naalya Senior Secondary School e Namugongo olunnaku olw’eggulo akawungeezi.

Ekizimbe ekyayidde, kibadde kisulwamu abayizi 90 era ebintu byabwe omuli ebitabo, engoye, emifaliso n’ebirala byonna byaweddewo.

Okusinzira kw’akulira abassomesa, Angella Kasobya omusajja akwattiddwa n’akwasibwa Poliisi, kyavudde ku baana okumwekengera mu kiseera nga begezaako okuzikiza omuliro.

Luke Owoyesigyire
Luke Owoyesigyire

Ate omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire agambye nti omusajja akumibwa ku Poliisi y’e Kiira kyoka agaanye okwatukiriza amannya ge kuba kiyinza okutataaganya okunoonyereza.

Abaana abasukka 40 bafunyemu obuzibu omuli okuzirika era batwaliddwa mu bulwaliro okumpi ne ssomero okufuna obujanjabi.

Wabula amyuka Poliisi y’abazinya mwoto, Hassan Kihanda agambye nti bbo nga Poliisi, batandiise okunoonyereza ekyavuddeko omuliro gwo.

Eddobozi lya Angella Kasobya