Poliisi y’e Luweero ekutte abasomesa babiri (2) ku by’okusobya ku bayizi b’essomero aba pulayimale abatanetuka.
Abakwattiddwa kuliko Erias Musoke atemera mu gy’obukulu 44, omusomesa ku Katikamu Seventh Adventist secondary mu kibuga kye Wobulenzi ku by’okusobya ku mwana asoma pulayimale ey’okuna (P4) ku Divine Primary School mu kibuga Luweero.
Mungeri y’emu ne James Kimbowa atemera mu gy’obukulu 40 omusomesa ku New Life Secondary School naye akwattiddwa ku by’okusobya ku mwana era asoma pulayimale ey’okuna (P4) ku Sermon on Mountain Primary school era mu kibuga Luweero.
Abakwate bonna bateekeddwa mu kaduukulu ka Poliisi e Luweero ku misango gy’okujjula ebitanajja.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Savanah Paul Kangave, abasawo basobodde okubekebejja abaana era alipoota ekakasiza nti bonna bakozesebwa.
Kangave era agambye nti Poliisi efundikidde okunoonyereza, abasomesa essaawa yonna, batwalibwa mu kkooti.