Omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa ng’omuyimbi Bobi Wine eby’okuteeka ekivvulu ky’oluyimba “Kyarenga” mu kisaawe kye Namboole bikalubye.

Okusinzira ku bbaluwa erabiddwako omukutu gunno, akulira ekisaawe kye Namboole Jamil Sewanyana Mpagi, awadde ensonga ezenjawulo lwaki Bobi Wine alina okunoonya ekifo ekirala okutegeka ekivvulu kye.

Mpagi agambye nti bafunye okuwabula okuva mu bantu abenjawulo n’okusingira ddala bannabyamizannyo nti singa Bobi Wine bamukiriza okuteeka ekivvulu mu Namboole, ekisaawe kiyinza okwonooneka.

Agamba nti Uganda erina kampeyini okutwala ttiimu y’eggwanga eya Uganda Cranes mu kikopo kya Africa ekya AFCON mu ggwanga erya Cameroon nga singa bakiriza ekivvulu mu kisaawe kye Namboole, ekitongole ekitwala omupiira mu Africa ekya Confederation of African Football (CAF) bayinza okutanza FUFA ssente olw’ekisaawe ekibbi n’okulemesa Uganda okukyaza emipiira, ekiyinza okukosa Uganda obutakiika mu Cameroon.

Mungeri y’emu agambye nti wadde babadde bakiriza Bobi Wine okutwala ekivvulu mu kisaawe kye Namboole nga 9, November, 2018, bamwetondedde era asabiddwa okunoonya ekifo ekirala.

Kinnajjukirwa nti ekivvulu kya Bobi Wine kyabadde kirina okubaayo olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga nga 20, October, 2018 kyoka abakulira ekisaawe kye Namboole bakiyimiriza kuba wabadde walina okubaayo emikolo emirala omuli embaga.

Bakiriziganyiza n’abategesi b’ekivvulu okukyusibwa ne balangirira nga 9, November, 2018 kyoka ebiriwo biraga nti sikyakubaayo.