Omuyimbi Bobi Wine alemeddeko nti ekivvulu ky’oluyimba “Kyarenga” kirina okubaayo era tewali muntu yenna agenda kubalemesa.
Olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga, abakulira ekisaawe kye Namboole bawandikidde Bobi Wine okuyimiriza ekivvulu kye era bawadde ensonga ezenjawulo omuli okutataganya ekisaawe ekiyinza okulemesa Uganda Cranes okukiika mu kikopo kya Africa ekya AFCON mu ggwanga erya Cameroon n’ekitongole ekitwala omupiira mu Africa ekya Confederation of African Football okutanza FUFA ssente olw’ekisaawe ekibbi n’okulemesa Uganda okukyaza emipiira.
Wabula Bobi Wine asobodde okweyambisa omukutu gwe ogwa Face Book era agambye nti wadde balemeseddwa mu kisaawe e Namboole, tebayinza kugwamu maanyi era batandiise entekateeka empya okunoonya ekifo ekirala.
“Oba bagala oba tebagala tulina okutegeka konsati y’oluyimba Kyarenga era tutandiise okunoonya amagezi amalala, tugenda kubategeeza essaawa yonna ekiddako era temugwamu maanyi wadde musibiddwa emikono” bwatyo Bobi Wine bwasobodde okutegeeza abawagizi be.
Ku Face Book, Bobi Wine agambye nti bwati “To you my fans, friends and well wishers, do not lose heart. I can assure you that ONE DAY our nation shall be TOTALLY FREE from this mess. That day, all Ugandans will be free and equal. Regarding the concert, the good news is that we are actively looking at different options and will communicate very soon. What I know is that whether Namboole or not, we shall hold the KYARENGA album launch pretty soon“.
Kinnajjukirwa nti ekivvulu kya Bobi Wine kyabadde kirina okubaayo olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga nga 20, October, 2018 kyoka abakulira ekisaawe kye Namboole bakiyimiriza kuba wabadde walina okubaayo emikolo emirala omuli embaga.
Bakiriziganyiza n’abategesi b’ekivvulu okukyusibwa ne balangirira nga 9, November, 2018 kyoka ebiriwo biraga nti sikyakubaayo.