Omusajja agambibwa okutta eyali DPC w’ebuyende Asp Muhammad Kirumira aleteddwa mu kkooti y’e Wakiso omulundi ogwokubiri okutegeezebwa okunoonyereza wekutuuse ku misango egimuvunanibwa.
Abubaker Kalungi (42) nga mu bazzi mu bitundu bye Bulenga avunanibwa emisango ebiri okuli okutta Asp Muhammad Kirumira wamu n’omukyala Resty Mbabazi nga agambibwa okubakuba amasasi agaabatiirawo nga ayambibwako banne abakyanonyezebwa nga 8th September 2018, e Bulenga mu Disitulikiti y’e Wakiso.
Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Kamushabe Mariam lutegezezza kkooti nti bakyanonyereza obujjulizi era wasabidde omulamuzi omusango okwongezebwayo.
Omulamuzi w’eddala erisooka e Wakiso Martin Kirya akiriza okusaba kw’oludda oluwaabi era omusango gwongezeddwayo.

Kalungi asindikiddwa ku limanda e Kigo wakati mu byokwerinda ebyamaanyi, wakuzibwa mu kkooti nga 31st, October 2018 okuwerenemba ne misango.
Mu kkooti, Kalungi omulamuzi yamulagidde obutabaako kyayogera kuba avunaanywa musango gwa naggomola oguwulirwa kkooti enkulu yokka.
Wabula bwe yafulumiziddwa okumuzaayo mu kkomera Kalungi yagambye nti, “nze sittanga ku Kirumira wadde ogezaako, oyo wolokoso sirina maanyi gatta Kirumira era simuttangako”.
Eddoboozi lya Kalungi