KIWEDDE! Bobi Wine ayogedde amazima ku ky’okusibira Uganda Cranes akakookolo, alangiridde ekigenda okukolebwa
Omubaka we Kyadondo East, Robert Kyagulanyi Ssentamu, amanyikiddwa nga Bobi Wine, asambaze ebigambibwa nti, akowodde bannayuganda bonna, okwepena ttiimu y’eggwanga ey’omupiira gw’ebigere eya Uganda Cranes, olw’okuyimiriza ekivvulu ky’oluyimba Kyarenga, ekyabadde kirangiriddwa mu kisaawe e Namboole nga 9, omwezi gujja ogwa November, 2018.
Ku mutimbagano n’okusingira ddala ku mukutu ogwa Face Book, waliwo akabinja k’abantu abatandisewo Kampeyini, etumiddwa “#boycottugandacranes” bannayuganda okwepena ttiimu y’eggwanga.

Wabula Bobi, asobodde okweyambisa omukutu ogwa Face Book, okuwakanya, ebigenda mu maaso ku mutimbagano nategeza nti ttiimu y’eggwanga, ya bannayuganda bonna era buli muntu yenna ateekeddwa okugiwagira n’omutima gumu.
Mungeri y’emu agambye nti wadde abakulu bakulembeddemu okunyigiriza abayimbi mu kisaawe ky’okuyimba, bannayuganda bonna bateekeddwa okuwagira abantu abalina talenti omuli ne ttiimu y’eggwanga.
Bobi era agambye nti ttiimu y’eggwanga yonna, yefananyirizaako “Mirror” eteekeddwa okulaga ebirungi n’ebibbi ebigenda mu maaso mu ggwanga.
Bobi Wine agamba nti nga 20, October, 2018, bamulemesa nga bekwasa nti balina emikolo omuli embaga mu kisawwe kye Namboole ate nga 9, November, 2018 era bamulemeseza nga beyambisa ekitongole ekitwala omupiira gw’ebigere mu ggwanga ekya FUFA, kyoka byona Omukama yasigadde okulamula.
Ku face Book, Bobi Wine ayogedde”
I have seen some friends act out of anger as a result of the Kyarenga concert cancellation by the Namboole management. Friends, I dont agree with the trending hashtag #boycottugandacranes. Uganda Cranes is our national team in which we should always take pride and support with all our abilities. These young men, just like most of us work hard to raise our flag high using their talent even when they are insufficiently facilitated. If musical talent is being suffocated, let’s not take all the other talent down the drain. Our national team is the mirror of the best and worst in us as a nation so all they need is Love and understanding, not condemnation. We are all Uganda Cranes and Uganda Cranes is us.
#KyarengaNewDateComingSoon