Poliisi y’e Mukono ekutte omukyala eyakutte akambe, nasalako obusajja bwa bbaawe.
Rehema Kabayana myaka 24 yakwattiddwa ku by’okusalako waaya ya bba Anthony Sekawa 28.
Omukyala Kabayana agamba nti bba abadde asukkiridde obwenzi ng’alina abakyala abenjawulo omuli ne bamalaaya nga n’ensonga z’omu kisenge asukkiridde obugayavu.
Mungeri y’emu asobodde okutegeeza Poliisi nti olw’obusungu, yasobodde okuwagala akambe era bba olwakomyewo neyebaka, nakwata akambe, obusajja nabusalako.
Abatuuze bebasobodde okutakiriza era ssemaka Sekawa yasangiddwa mu kitaba ky’omusaayi, natwalibwa mu ddwaaliro lye Nambirembe okufuna obujanjabi ng’ali mu mbeera mbi.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, omukyala Kabayana aterekeddwa ku Poliisi y’e Mukono ku misango gy’ogezaako okutta omuntu nga Poliisi bwegenda mu maaso n’okunoonyereza.