Kyaddaki Ssaabavvulu Balaam Barugahara atabukidde abategesi b’ekivvulu ky’oluyimba “Kyarenga” olwa Bobi Wine okukomya okulumbagana Gavumenti nti yalemeseza ekivvulu kyabwe.

Abakulira ekisaawe kye Namboole bayimiriza ekivvulu kya Bobi Wine nga 20, October, 2018 olw’embaga mu kisaawe ate nga 9, November, 2018 era ekivvulu bakiyimirizza kuba ekitongole ekitwala omupiira gw’ebigere ekya FUFA kirina omupiira mu kisaawe e Namboole, Uganda Cranes mwegenda okukyaliza Cape Verde nga 16, November, 2018.

Wabula Ssaabavvulu Balaam awadde ensonga eziwerako lwaki ekivvulu kyayimiriziddwa emirundi ebbiri(2).
Balaam agamba nti abategesi b’ekivvulu balemererwa okusasula ekisaawe kye Namboole kyoka ne batandiika okulanga ekivvulu.
Mungeri y’emu agambye nti abategesi balemwa okutegeeza ebitongole bya Gavumenti ebikwatibwako omuli ekitongole ekikulira ekibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority (KCCA), ekitongole ekivunaanyizibwa ku butonde bw’ensi, ekya National Environment Management Authority (NEMA) era y’emu ku nsonga lwaki Poliisi yabayimiriza.
Balaam agamba nti ensobi ezakolebwa abategesi tebalina zivumira Gavumenti kuba balemwa okukola omulimu gwabwe.
Ku nsonga y’okutambuza emirimu n’okutegeka ebivvulu, Balaam awadde abantu bonna amagezi okuwa Gavumenti ekitiibwa n’abakulembeze abalonde.
Olunnaku olw’eggulo, omubaka we Kyadondo East amanyikiddwa nga Bobi Wine yagambye nti Gavumenti okunyigiriza abantu baayo y’emu ku nsonga lwaki ekivvulu kye kyayimiriziddwa.