Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Rugarama mu ggoombolola y’e Maziba mu disitulikiti y’e Kabale, mutuuze munaabwe ate nga ssemaka Jack Buturoha myaka 72, bwasangiddwa ng’attiddwa.

Omulambo gwa ssemaka Buturoha gusaangiddwa mu kitaba ky’omusaayi okumpi n’amakaage era omulambo gusangiddwaako ebisago ebinene.

Abatuuze bebasobodde okutegeeza ku Poliisi era abantu 5 bakwattiddwa omuli ne mukyala we Joy Akampulira myaka 49 mutabani we Manzi Brave n’abalala 3.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi Elly Maate, omugenzi Buturoha n’omukyala Akampulira baludde nga balina obutakaanya mu maka, era y’emu ku nsonga lwaki omukyala akwattiddwa okuyambako Poliisi mu kunoonyereza.