Omuyimbi Jabulani Tsambo abadde asinga okulapinga mu ggwanga erya South Africa afudde.
Tsambo abadde amanyikiddwa nga HHP afiridde ku myaka 38.
Ekivudde omuyimbi HHP okufa tekinaba kumanyika era bangi ku bannansi balindiridde alipoota okuva mu basawo.
HHP y’omu ku bayimbi mu ggwanga eryo, ababadde bayimba ennyimba mu nnimi ennansi, ekimufudde omuntu owenjawulo nnyo.
Mu ggwanga eryo, bangi ku bannansi omuli n’ekibiina ekiri mu buyinza ekya African National Congress (ANC) batandiise okusindika obubaka obukubagiza.
HHP abadde amanyikiddwa ennyimba ze omuli Jabba, Tswaka, Bosso, Wayza, Music and Light, Akhonto n’endala.