Abakulu ku yunivaasite y’e Kyambogo bagudde mu lukwe olwa bannabyabufuzi abatandiise okutabangula yunivaasite nga beyambisa abayizi.

Okusinzira kw’amyuka Chansala Prof. Elly Rwakishaya Katunguka ekibiina kya Forum for Democratic Change (FDC) n’ekisinde kya People Power, bakulembeddemu okutabula yunivaasite nga beeyambisa obukodyo obwenjawulo.

Prof Katunguka agamba nti bangi ku bayizi bawereddwa ssente okutabula yunivaasite kyoka buli muyizi yenna anakwatibwako kakumujjuutuka.

Prof. Elly Rwakishaya Katunguka
Prof. Elly Rwakishaya Katunguka

Agamba nti embeera eyo, y’emu ku nsonga lwaki abayizi bekalakasiza ku lunnaku Olwokubiri nga bawakanya ssente ezayongezeddwa okuva ku mitwalo 10 okudda 25 era abayizi bonna abagenda okugezesebwa (internship).

Mu Uganda, omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine yakulembera ekisinde ekya People Power era bangi ku bantu n’okusingira ddala abavubuka bamukiririzaamu nnyo.