Omuyimbi Fik Fameica akyamudde abadigize ku kirabu Amnesia ekkiro ekikeseza olunaku lwa leero ku Lwokutaano.
Fik abadde mu kivvulu kya campus night ekitegekebwa buli Lwakuna era okuyingira kwa bwereere.

Ku siteegi, asobodde okuyimba ennyimba ezenjawulo omuli Property, Gwe Abisobola, Kachima, Byenyenya, Sconto, Mafia n’endala kyoka oluyimba Tonsukuma lutabudde ekifo kyona n’abadigize.
Byanabiwala ebyamyuka ebithambi ng’amatungulu byetiriboosezza emibiri ng’ebiwendule nga Fik alinye ku siteegi era bingi ku byo, bifunye ku ssanyu.

Mungeri y’emu bisabye Fik okugikwatako (Microphone) kyoka bangi tebafunye mukisa.








