Kyaddaki omukyala Zari Hassan ayongedde okulaga nti buli mukyala yenna asobola okweyimirizaawo singa alemera ku nsonga.

Zari wadde alina abaana bataano (5), y’omu ku bakyala abegombesa buli muntu era omwezi oguwedde yalondebwa ku bwa Ambasadda w’ebyobulambuzi mu Uganda.

Mu kiseera kino, talina musajja amanyiddwa oluvanyuma lw’okwawukana ne bba Diamond Platnumz wadde yali amuzaalidde abaana babiri (2) ate omugenzi Ivan Semwanga yamuzaalira abaana basatu (3).

Zari asobodde okweyambisa omukutu ogwa instagram, okutegeeza nti ” Olina okujjukira kyendi, omulimu gwange kuzaamu bantu maanyi”.

Mu lungereza, Zari agambye nti, “Remembering who I am and my responsibilities is the only motivation I need”.

Abamu ku bagoberezi be bagambye nti Zari abadde ayanukula eyali bba Platnumz kuba yalemwa okutegeera kyali era y’emu ku nsonga lwaki bafuna obutakaanya oluvannyuma ne bawukana.

View this post on Instagram

A post shared by Zarithebosslady (@zarithebosslady)