Poliisi y’e Isimba ezudde emmotoka kika kya Ambulance namba UAW 984Z eyabadde ebiddwa ku bannansi ba China okuva mu kampuni ya China International Water and Electric Company (CEC) emu ku kampuni ezaakwasibwa eddimu ly’okuzimba ddaamu.
Kigambibwa Dereeva wa Ambulance yekobaanye ne banne okubba emmotoka okuva Isimba era yasangiddwa mu bitundu bye Kamuli.

Aba Kampuni bekengedde Dereeva, kwekuddukira ku Poliisi okuyambibwa.
Mu kiseera kino Poliisi ekutte Kagodda Musa okuyambako Poliisi mu kunoonyereza kyoka Dereeva Mufumbiro Abdul yadduuse era akyanonyezebwa.
Poliisi egamba nti wadde Mufumbiro yadduuse balina okumunoonya ku misango gy’obubbi.