Abubaker Kalungi myaka 47 eyakwatibwa ku by’okutta eyali DPC we Buyende Muhammad Kirumira asabye kkooti okulagira ekitongola ky’amakkomera okumuwa obujanjabi.

Kalungi aleteddwa mu kkooti y’e Wakiso enkya ya leero mu maaso g’omulamuzi w’eddala erisooka Easter Nakadama Mubiru, okutegezebwa okunoonyereza wekutuuse ku misango egimuvunanibwa.

Mu kkooti, Kalungi ategezeza omulamuzi nti mulwadde era alumizibwa omugongo, embirizi, amagulu n’ebitundu ebirala kyoka bukya asindikibwa ku limanda mu kkomera lye Kigo nga 4, October, 2018, tafunaanga ku bujanjabi.
Omulamuzi Nakadama atabukidde abasirikale mu kitongole ky’amakkomera olw’okulemwa okuwa Kalungi obujanjabi kuba kityobola eddembe ly’obuntu era alagidde Kalungi okutwalibwa mu kkomera lye Luzira okufuna obujanjabi bwe kiba nga ab’e Kigo balemereddwa oba tebalina ddagala.
Kirumira yattibwa n’omuwala mukwano gwe Resty Mbabazi Nnaalinnya myaka 25 nga 8, September, 2018, e Bulenga mu disitulikiti y’e Wakiso ku ssaawa 3:30 ez’ekiro.
Kalungi aziddwayo ku limanda mu kkomera okutuusa nga 14, November, 2018 okusobozesa oludda oluwaabi okomekereza okunoonyereza.