Abamu ku basajja mu nsi yonna singa omukyala anoba, embeera ebatabukako wadde balina ssente era bangi batera okwetta.

Omwaka 2017, Omukyala Zari Hassan ne bba omuyimbi Diamond Platnumz okuva mu ggwanga erya Tanzania, bafunamu obutakaanya ne bawukana wadde balina abaana babiri (2).

Diamond Platnumz ne Zari nga bakyali bombi
Diamond Platnumz ne Zari nga bakyali bombi

Bangi ku bantu bali balowooza Platnumz embeera egenda kwononeka kuba omukyala Zari abadde amuyamba ennyo agenze naye mwattu sibwekiri.

Diamond Platnumz
Diamond Platnumz

Bukya Zari agenda, kirabika Platnumz yafuna essanyu n’omwaganya okukyaza n’okusembeza buli mukyala gwe yali yeegomba okukyusa ku woyiro.

Platnumz y’omu ku bayimbi abalina ssente mu ggwanga erya Tanzania era kimuwadde omukisa okufuna buli mukyala gweyetaaga okukola buli kyayagala.