Omulamuzi w’e Nakawa Noah Sajjabbi agaanye okugoba omusango gw’obutujju eri abantu 22 abakwatibwa ku by’okutta eyali omwogezi wa Poliisi mu ggwanga  Andrew Felix Kaweesi.

Abantu ku bataano (5) ku bavunaanibwa nga bakulembeddwamu munnamateeka wabwe Anthony Wammeli badduukira mu kkooti okusaba okugibwako omusango gw’obutujju kuba oludda oluwaabi lulemeddwa okuleeta obujjulizi mu banga lya myezi mukaaga (6) egiweebwa mu sseemateeka.

Abamu ku bagambibwa okutta
Abamu ku bagambibwa okutta

Wammeli yewunyiza lwaki Gavumenti eremereddwa okulangirira nga bwe talina bujjulizi ku bantu be.

Wabula omulamuzi Sajjabbi bwe yabadde awa ensala ye olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna yagambye nti tayinza kusalawo ku nsonga eyo kuba oludda oluwaabi lutegezeza kkooti nti bakyanoonyereza obujjulizi.

Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Racheal Nabwire agamba nti tebanaba kulemererwa wabula bakyanoonyereza ku bantu bonna abeyimirirwa.

Omusango gwayongezeddwaayo okutuusa nga 10, January, 2018.