ABATUUZE ku kyalo Masalire mu disitulikiti ya Mbale baguddemu ekikangabwa, mutuuze munaabwe bw’atemeddwako omutwe ne gutwalibwa.

Ssemaka Jackson Mafu Turu myaka 68 omulambo gwe gusangiddwa abatuuze mu kitaba ky’omusaayi ne bakuba enduulu.

Okusinzira ku ssentebbe w’ekyalo Boniface Wabomba, ssemka Turu abadde abeera n’abazzukulu babiri (2) era bewunyiza abatemu okumulumbagana mu maka ge, nattibwa mu bukambwe, omutwe ne gutwalibwa.

Omulambo, gutwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mbale okwekebejjebwa era adduumira Poliisi mu kitundu ekyo, Mathias Turyasingura agambye nti Poliisi, atandise okunoonyereza okuzuula abatemu n’omutwe ogwatwaliddwa.

Mungeri y’emu, agambye nti ssemaka yandibanga, yasaddakiddwa kuba ekitundu, kifumbekedde abasawo b’ekinnansi.