Poliisi mu Kampala ekutte abantu 41 mu kikwekweeto ekikoleddwa okukwata abagambibwa okutigomya abantu.

Ekikwekweeto kikoleddwa mu bitundu omuli mu butale obwenjawulo, Platinum House, Allen Road, Nakivubo Channel, Kinyamwandu, Nabugabo n’ebitundu ebirala era abakwatiddwa bateberezebwa okunyakula ensawo z’abakyala, okubba amasimu, laptop ku nguudo mu Kampala, okunywa enjaga n’ebiragalaragala n’ebikolobero ebirala.

Okusinzira kw’adduumira Poliisi mu Kampala CP. Moses Kafeero Kabugo, ekikwekweeto kyabwe ekya Dumisha Usalaama Operation kikyagenda mu maaso okutuusa ng’abantu bonna abatigomya abantu mu Kampala n’emirirwano bakwatiddwa kuba bayinza okulemesa abantu okulya obulungi ennaku enkulu eza ssekukulu.