Kyaddaki aba Fire Base bavuddeyo okulambika abantu babwe engoye zebatekeddwa okwambala mu kivvulu kyabwe sabiti eno ku Lwomukaaga nga 10, November, 2018.
Aba Fire Base nga bakulembeddwamu omuyimbi Nubian Li bagamba nti mu kivvulu ky’oluyimba “Kyarenga” olwa Bobi Wine ku One Love Beach Busabala, buli muntu yenna waddembe okwambala engoye zayagala era tebasubira omuntu yenna kubatataganya omuli ne Poliisi.
Nubian Li era agamba nti buli muntu yenna waddembe okulaga essannyu lye mungeri yonna era tebasubira nti Poliisi eyinza okulemesa abantu okwambala ebimyufu okufanaganako n’abawagizi ba People Power.
“Sseemateeka wa Uganda tegaana muntu kwambala langi gy’ayagala, oli asobola okwambala yellow, Blue oba Red era buli langi yonna ekirizibwa. Ffe tetulina buyinza okulemesa abantu okwambala langi zabwe kubanga People Power tesosola mu langi wadde ekibiina eky’obyobufuzi ate n’ekivvulu ssi kya byabufuzi, ekivvulu kyakwesanyusa okuwagira muyimbi waffe Bobi Wine”Nubian Li bwanyonyodde.
Eddoboozi lya Nubian Li