Omulamuzi wa Buganda Road Stella Maria Amabilis yayimbudde omuwala Suzan Namata eyeewera okulaga Pulezidenti w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni ebitundu by’ekyama.

Namata myaka 21 yayimbuddwa ku kakalu ka kkooti ka mitwalo 60 era yaleese abantu babiri okumweyimirirwa omuli maama we Jesca Namubiru ne nnyina omuto Rose Nampala.

Yoweri Museveni
Yoweri Museveni

Omuwala Namata ng’akulembeddwamu munnamateeka we Isaac Ssemakadde yategezeza omulamuzi nti mulwadde, okuva lwe yakwatibwa nga August 27, 2018 abadde mu kadukulu ka poliisi nga tafuna bujjanjabi kyokka nga ne bwe yali akwatibwa yaggyibwa mu ddwaaliro ng’ali mu mbeera mbi.

Okusinzira ku ludda oluwaabi, mu August wa 2018, Namata ne mukwano gwe Sheilah Akampulira baafulumya akatambi nga bawera okulumba Museveni bamweyambulire ssinga tayimbula omubaka wa Kyaddondo East, Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine eyali asibiddwa mu kkomera ly’amaggye e Makindye oluvanyuma lw’okukwatibwa nga 13, August, 2018 mu bitundu bya Arua.

Mariam Njuki omuwaabi wa Gavumenti yawakanyiza eby’okuyimbula Namata kyokka omulamuzi yategeezezza nga bw’alina eddembe lye okweyimirirwa era yamuyimbudde ku kakalu ka mitwalo 60.

Omusango guddamu okuwulirwa mu kkooti y’emu nga 20, November, 2018.