Poliisi mu Kampala ekutte omuntu ow’okubiri, ateberezebwa okusasaanya ebibaluwa nga 24, October, 2018 okuli amannya g’abantu abalina okuttibwa.

Ebibaluwa byasuulibwa mu maka g’omubaka wa Lubaga North, Moses Kasibante, nga kuliko amannya 16 okuli Katikkiro wa Buganda munnamateeka Charles Peter Mayiga, omubaka wa Kyadondo East Robert Kyagulanyi (Bobi Wine), Minisita wa Kampala Beti Olive Namisango Kamya-Turomwe.

Abalala kuliko Sheikh Matovu, omutabuzi w’eddagala Sadam Rashid Lukwago, eyali omuduumizi wa poliisi mu Kampala South, Siraje Bakaleke, amyuka omwogezi wa poliisi, Patrick Onyango, amyuka ssentebe wa NRM e Lubaga, Justine Buchana, omubaka wa Kampala Central Muhammad Nsereko, amyuka Supreme Mufti Sheikh Mahmood Kibaate, Loodi Meeya wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago, Jjajja w’obusiraamu mu ggwanga Omulangira Al Haaji Dr.Kassim Nakibinge n’omubaka wa Lubaga North, Moses Kasibante ne Dayirekita wa Kampala Jennifer Musisi Ssemakula.

Luke Owoyesigyire
Luke Owoyesigyire

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirwano, Luke Owoyesigyire, Lawrence Kibira gwe basooka okukwata yayimbuddwa kakalu ka Poliisi kyokka bakutte omuntu omulala gwagaanye okwatukiriza amannya ge kuba kiyinza okutataaganya okunoonyereza kyokka naye muvuzi wa bodaboda.