Zari Hassan y’omu ku bakyala buli musajja gweyegomba kuba wadde alina emyaka 38, anyirira okusinga ku bawala abato.
Mu kiseera kino, ye Ambasadda w’ebyobulambuzi mu Uganda era olunnaku olw’eggulo yabadde mu bitundu bye Jinja.

Zari yalambuddeko olutindo olupya mu kampeyini ya “Tulambule ne Zari” mu kibuga Jinja era abantu bakungaanye okumulabako n’okusingira ddala abasajja kuba abantu bangi nnyo abamwegomba.

