Kkooti y’amaggye mu bitundu bye Makindye egaanye okuyimbula omuyima wa Bodaboda 2010 Abdullah Kitatta omulundi ogwokubiri.
Kitatta yaakasaba kkooti y’amaggye e Makindye okweyimirirwa emirundi ebiri ng’okusaba kwe kugwa butaka.
Olunnaku olwaleero, bamulese mu kkooti ng’alinamu essuubi oba oli awo bayinza okumuyimbula, kkooti ekamutemye nga bwe kitajja kusoboka n’awotoka.
Kitatta avunaanibwa emisango okuli; okusangibwa n’emmundu eya zzaabu, amasasi agasoba mu 30, emmundu ekika kya SMG ssaako basitoola(pistol) n’ebyambalo by’amagye nga byonna bya bajaasi ba UPDF.
Ono avunaanibwa n’abalala 11 nga bonna ba kibiina kya bodaboda 2010 okuli Joel Kibirge, Ibrahim Ssekajja Sowali Ngoobi, Matia Ssenfuka, Jonathan Kayondo, Hassan Ssengooba, Sunday Ssemwogerere, John Sebandek, Hussein Mugema, Amon Twinomujuni ne Bwanika Fred nga bakwatiba mu January 2018.
Enkya ya leero, Kitatta aleese abantu 3 okumweyimirira omuli omukozi mu maka g’obwa Pulezidenti Sulaiman Walusimbi, omuwandiisi wa NRM e Rubaga Mohammad Kibirige ne Abu Matovu ssentebe w’ekyalo Ddundu mu ggoombolola y’e Kyampisi mu Disitulikiti y’e Wakiso.
Mungeri y’emu Kitatta azzeemu okuwa ensonga lwaki asaba okumweyimirirwa omuli mulwadde nga yetaaga obujanjaba ate mu kkomera gy’ali tebasobola kujanjaba mulwadde bwe, musajja alina amaka ku bitundu ebyenjawulo omuli mu ggoombolola y’e Rubaga, Kampala.
Amaka amalala gasangibwa Nakasajja mu disitulikiti y’e Mukono ne Entebbe mu disitulikiti y’e Wakiso.
Wabula ssentebbe wa kkooti Lt Gen Andrew Gutti azzeemu okuwa ensonga zezimu zeyawa ku mulundi ogwasooka nga Kitatta asabye okweyimirirwa nti singa ayimbulwa, ayinza okutataaganya okunoonyereza n’abajjulizi ate bannamateeka be balemeddwa okumatiza kkooti nti obulwadde bwe ( Kitatta) tebasobola kubujanjabi mu kkomera ly’amaggye gy’ali.