Kyaddaki omuyimbi Jose Chameleone avuddemu omwasi ku bigenda mu maaso mu ggwanga lino Uganda.

Chameleone asobodde okweyambisa omukutu ogwa Face Book, okulambika bannayuganda ku nkyukakyuka gye betaaga omuli n’abakulembeze okwerangira ebigambo ebisongovu.

Chameleone nga y’omu ku bayimbi abayimirizaawo ekisaawe ky’okuyimba, eyakuyimbira ennyimba ezenjawulo omuli Mateeka, Valu Valu, Jamila, Wale Wale n’endala, agamba nti abantu batekeddwa okukyusa endowooza zaabwe ku buli nsonga yonna.

Agamba nti enkyukakyuka, ssi kukyusa bakulembeze wabula abantu bateekeddwa okusoosowaza okwagala.

Mu ngeri y’emu anokoddeyo nti okwegata, kigenda kuyamba nnyo bannansi okweyagalira mu ggwanga lyabwe.

Chameleone waviriddeyo nga Bobi Wine ne Bebe Cool tebakwatagana nga kivudde ku njawukana mu byobufuzi kuba Bebe awagira nnyo Pulezidenti Yoweri Museveni ate Bobi Wine akulembeddemu kampeyini okukyusa obuyinza mu ggwanga.

Ebigambo bya Chameleone singa bombi babyeyambisa, bayinza okuddamu okwatagana ku nsonga ezenjawulo.

Mu Lungereza, Chameleone agambye nti ” The best we can trade is Love for human nature. Many think change is changing leaders and many more things – No!!

We must begin with changing the way we think,Appreciate and Love each other.

That’s where it begins. #Mpa❤️

Let’s parade in unity

7th December | Lugogo Cricket Oval Stadium ??

Legend Saba Saba”.