Omunoonyereza mu Makerere Yunivaasite, Dr. Stella Nyanzi enkya ya leero akomezebwawo mu kkooti ya Buganda Road okuva ku Limanda mu kkomera e Luzira okuddamu okumusomera emisango egimuvunanibwa.
Stella Nyanzi ng’aweza eg’obukulu 42 era nga mutuuze w’e Kyanja – Kisasi ekisangibwa mu Divizoni y’e Kawempe avunaanibwa emisango omuli egy’okuvvoola omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni ne nnyina eyava edda mu bulamu obw’ensi eno Esteri Kokundeka n’okweyambisa omutimbagano gwa ‘facebook’ mu ngeri emenya amateeka nga 16, September, 2018.

Enkya ya leero, agenda kusimbibwa mu maaso g’omulamuzi Gladys Kamasanyu.
Dr Nyanzi yakwatibwa sabiti ewedde ku Lwokutaano bwe yali agenze ku Poliisi y’e Wandegeya okusaba okuweebwa obukuumi, asobole okugenda ku yunivaasite y’e Makerere okwekalakaasa ng’awakanya eky’okulwawo okumuzza ku mulimu.