Omuyimbi Bobi Wine afukamidde okwebaza enkuyanja y’abantu abavudde mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo okwetaba mu kivvulu ky’oluyimba Kyarenga ku One Love Beach Busabala ku Lwomukaaga.

Bobi Wine agamba nti abantu bamulaze omukwano n’okwagala, era ekivvulu kyakoze ebyafaayo.

Mungeri y’emu asiimye abantu n’abayimbi abalaze essannyu ku nnyimba zonna n’okusingira ddala ku luyimba lwa  Freedom.

Bobi Wine agamba nti singa buli muntu akola omulimu gwe, “olutalo nga luwedde tuliyambala engule mu Uganda empya”.