Omuyimbi Eddy Kenzo atendereza bannayuganda okulaga omutima omulungi mu kivvulu ky’oluyimba Kyarenga olwa Bobi Wine e Busabala ku One Love Beach.
Kenzo agamba nti mu kivvulu amassimu tegabiddwa, abantu besonyiye efujjo, tewali muntu yattiddwa wadde omusaayi okuyiika.
Mungeri y’emu agamba nti tewali muntu yenna yakubiddwa nga ne Poliisi yakoze bulungi omulimu gwaayo okunyweza ebyokwerinda.

Kenzo eyakuyimbira Sitya Loss agamba nti Konsati ya Kyarenga, ky’ekivvulu ekikyasinze okusombola abantu okuva Uganda lwe yafuna obwetwaze mu 1962.
Mungeri y’emu akubiriza abantu okusigala ku mazima ku buli nsonga yonna era asiimye Bobi Wine okweyambisa konsati okugata bannayuganda bonna.

