Entiisa ebutikidde abayizi ku ssomero St Bernard’s Mannya Secondary School mu ggoombolola y’e Kifamba, mu disitulikiti y’e Rakia, nabbambula w’omuliro, bwakutte ekizimbe ky’abayizi aba siyina ey’okusatu (S3) abalenzi mu kiro, ekikeseza olunnaku olwaleero.

Okusinzira ku batuuze, abamu ku bayizi bafudde era kiteberezebwa basukka mu 10.

Emilian Kayima
Emilian Kayima

Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Emilian Kayima agambye nti ekivuddeko omuliro tekinamanyika kyoka kiteberezebwa nti waliwo abayizi abagobeddwa ku ssomero, abakumye omuliro era ku ssaawa ku 9 ez’ekiro, Poliisi, abatuuze n’abayizi bakoze kyona ekisoboka okuzikiza omuliro.

Kayima era agambye nti batandiise okutekawo embeera okusobozesa abayizi ba siniya ey’omukaaga (S6) okutuula ebigezo byabwe wadde waliwo okutya era okunoonyereza ekyavuddeko omuliro kutandiise.