Poliisi mu Kampala ekutte abantu abenjawulo, abateberezebwa okwenyigira mu kubba era kiteberezebwa bebalumba fakitole etunda ebizimbisibwa eya Crane Roofings Limited e Kyambisi mu disitulikiti y’e Mukono ne banyaga obukadde 100 n’okulumya asikaali, eyali akuuma ekifo.

Abakwatiddwa kuliko Hakim Kigozi ne mukwano gwe Darius Atwine era Kigozi asangiddwa n’ebintu ebyenjawulo omuli ssente mpitirivu ddala, essimu ekika kya iphone, ebyuma ebiteberezebwa nti byeyambisibwa mu kumenya ebifo ebyenjawulo.

Mungeri y’emu Poliisi egamba nti abantu abo okwatibwa, basangiddwa nga batekateeka okubba abatunda omusenyu mu bitundu bye Lwera kyokka mukama wabwe abadde akikulembeddemu ategerekeseeko erya Kawooya omutuuze wa Yesu Amala – Nansana, asobodde okudduka kyokka bakutte mukwano gwe Ssejjemba ng’avuga bodaboda namba UER 458F.

Poliisi era egamba nti bakutte abadde akulembeddemu olukwe, ategerekeseko erya Jjingo nga mutuuzi wa byenyanja, omusenyu n’ebintu ebirala era akiriza nti yabadde asuubiziddwa ssente okulwanyisa obwavu.

Abakwate bonna, bateekeddwa mu nkomyo ku Poliisi y’e Jinja ku misango gy’obubbi.