Abantu 27 bebakwatiddwa mu Konsati y’oluyimba Kyarenga ku One Love Beach Busabala ku lunnaku Lwomukaaga.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, Luke Owoyesigyire abakwatiddwa bateberezebwa okwenyigira mu kubba amassimu n’okutandiika okulwana nga kivudde mu kunywa omwenge ogusukiridde.

Abakwate bali ku Poliisi y’e Katwe era abasirikale bagenda kubasunsulamu okuggyamu abakyamu batwalibwe mu kkooti bavunanibwe.
Owoyesigyire era agambye nti ekivvulu, kyatambudde mu mirembe nga kyavudde ku byokwerinda ebirungi ne mpuliziganya wakati wa Poliisi n’abategesi.