Kyaddaki Sheebah Kalungi anokoddeyo abantu basatu (3) abamuyambye ennyo mu kisaawe ky’okuyimba n’okulwanyisa okusomozebwa mu ngeri ezenjawulo.
Mu Uganda, Sheebah y’omu ku bayimbi abawambye ekisaawe ky’okuyimba olw’ennyimba ze omuli Wadawa, Onina, Twesana, Nze Wuwo, Akusse, Binkolera, Sintani Tonkema, Akkuse, Mummy Yo n’endala era asobodde okuwangula engule ezenjawulo.

Bw’abadde awayamu naffe, Sheebah anokoddeyo abantu 3 abamukwatiddeko okutumbula talenti ye era ayogeddeko erinnya limu okuli Lwanga, Kibirige n’omukyala Jackie.

Mungeri y’emu agambye nti ne manejja we Jeff Kiwa y’omu ku bantu abali ku mwanjo batagenda kwerabira.
Sheebah alina konsati nga 30, November, 2018 ku Hotel Africanna mu Kampala era bangi ku bannayuganda balindiridde lunnaku.