Poliisi y’e Rakai ekutte abantu 6 okuyambako abasirikale mu kunoonyereza ku muliro ogwakutte essomero lya St Bernard’s Mannya Secondary school mu ggoombolola y’e Kifamba mu disitulikiti y’e Rakai olunnaku olw’eggulo.
Omuliro gwakutte ekizimbe ky’abayizi abalenzi aba S3 era abayizi 11 bebakafa.

Wabula Poliisi ekutte abayizi ba S4 abagobwa ku ssomero ku bigambibwa nti bakulembeddemu okwokya ekizimbe omuli Stephen Kankiroho, Dickson Kisuule ne Enoch Mugulusi.
Mungeri y’emu bakutte abasomesa basatu (3) omuli Achilles Mugerwa, Johnson Mugisha ne Adolf Kaggwa.
Poliisi egamba nti erina okunoonyereza okutuuza ng’abantu bonna abenyigidde mu kwokya essomero bakwatiddwa.