100.2 Galaxy FM nga yegattiddwako kampuni ya Kagwirawo sports Betting batadde omusimbi mu tonamenti y’omupiira gw’ebigere, kolegi ezenjawulo mwezigenda okuttunkanira okuwangula ebirabo ebyenjawulo.
Tonamenti emanyikiddwa nga Guild Inter College Gala yakumala ennaku ebbiri (2) okuva nga 8, February, 2019 – okutuusanga 9, February, 2019 era kolegi zonna zigenda kutunka.
Galaxy FM ne Kagwirawo basobodde okuteeka obukadde obusukka mu 10 mu kampeyini yonna omuli okuwa buli kolegi omujjozi, ebimu ku binaakozesebwa mu kusamba n’ebintu ebirala.

Okusinzira ku manejja wa Kagwirawo era akulira eby’emizannyo ku Galaxy FM Yonah Mutawe, mu Uganda abantu bagala nnyo ebyemizannyo era y’emu ku nsonga lwaki bavuddeyo okuwagira yunivaasite y’e Makerere.
Ate manejja wa Galaxy FM Ashraf Ajobe Habib, agambye nti laadiyo y’abavubuka ate eyagala nnyo okutumbula Talenti, nga eky’okuwagira Makerere, kigenda kuyamba nnyo abayizi okulaga ebitone byabwe.

Ate kitunzi wa Galaxy FM Dj Nimrod agambye nti, Galaxy FM ne Yunivaasite y’e Makerere baludde nga bakwatagana mu ngeri ezenjawulo nga eky’okuteeka ssente mu tonamenti obukadde obusukka mu 10, kabonero akalaga nti enkolagana eyongedde okunyikira.
Ku lwa yunivaasite y’e Makerere, minisita akulira ebyemizannyo ku lukiiko olukulira abayizi Briget Umutoni, asiimye 100.2 Galaxy FM ne Kagwirawo Instant Bet, Instant Cash okuwagira yunivaasite yabwe mu byemizannyo era ategezeza nti omuwanguzi wakusitukira mu sseddume w’ente.
Kolegi ezigenda okutunka mulimu
1 – College of Veterinary Medicine, Animal Resources & Bio-security
2 – The School of Law
3 – College of Natural Sciences
4 – College of Humanities and Social Sciences
5 – College of Health Sciences
6 – College of Engineering, Design, Art and Technology
7 – College of Education and External Studies
8 – College of Computing and Information Sciences
9 – College of Business and Management Sciences
10 – College of Agricultural and Environmental Sciences