Poliisi mu Kampala ekutte omusajja, eyasobeza ku mwana myaka 7 namuwa shs 500, okusirika.
Daniel Kasule myaka 32, nga mutuuze we Ganda Nansana, yakwatiddwa era akumibwa ku Poliisi y’e Nansana.
Kasule okwatibwa, kidiridde nnyina w’omwana Teddy Nakimbugwe nga mutunzi wa byenyanja okutegeeza ku Poliisi nti muwala we, bamusobezaako.
Maama agamba nti neyiba we Margaret Kobusingye yakuuma abaana, bwaba ali ku mulimu era omwana yanyumizza nga Kasule, yamulagidde okugyamu empale, ayingire mu kisenge era olwamaze okumukozesa, namuwa shs 500, obutagamba muntu yenna.
Maama Nakimbugwe yaddukidde ku Poliisi era Kasule yakwatiddwa ku misango gy’okujjula ebitanajja.

Addumira Poliisi y’e Nansana SP Benard Katwalo, agambye nti bakomekereza okunoonyereza era fayiro y’omusango yatwaliddwa eri omuwaabi wa Gavumenti okugyekebejja oluvanyuma Kasule atwalibwe mu kkooti.