Ambasadda w’ebyobulambuzi mu Uganda Zari Hassan ayongedde okunyumirwa omulimu gwe ng’ali ne minisita omubeezi ow’ebyobulambuzi, Godfrey Kiwanda Ssuubi era balidde obulamu.

Zari yabadde ne Minisita Kiwanda ku Sempaya hot springs Fort Portal wakati mu byokwerinda n’okulya eswaga.

Ambasadda Zari asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram nakowoola abantu bonna okulambula ebintu ebyenjawulo mu ggwanga lyabwe.

Wabula abamu ku bagoberezi ba Zari bagamba nti ebikolwa bye birumya eyali bba Diamond Platnumz.