Poliisi y’e Hoima ekutte omukyala Mary Faling myaka 19 ku by’okutta omwana we Davies Wamani myaka 2.

Faling mutuuze ku kyalo Rukooge cell mu ggoombola y’e Busiisi mu Disitulikiti y’e Hoima era ku lunnaku Olwokutaano, yakwata omwana Wamani namutwala mu nsiko namutuga mu bakambwe, omulambo naguziika.

Abatuuze bamutabukidde nga bamubuuza omwana ne balangirira okumutta, ekyamutisizza nategeeza nti omwana amwettidde.

Embeera eyo, yawaliriza abatuuze okutabuka era omukyala Faling yakwatiddwa natwalibwa ku kitebe kya Poliisi e Hoima.

Ku Poliisi, Faling yategezeza nti abadde tafuna buyambi okuva eri taata w’omwana, ekimusindikiriza okumutta.

Omulambo gw’omwana Wamani gusimiddwa mu ntaana mu nsiko era gutwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Hoima ate  omukyala Faling ali ku misango gya butemu.