Kyaddaki Omuyimbi Bebe Cool alangiridde nga 26, Desemba, 2018, okudda ku siteegi okuyimbira abawagizi be mu ggwanga lino Uganda.
Bebe agamba nti mu kivvulu kye “Tondeka Ekiwatule Mutima Gwa Zabbu” kigenda kulaga abatamwagaliza nti mu Uganda y’omu ku bayimbi abasinga obuwagizi.
Mungeri y’emu agamba nti ssente ezinaava mu kivvulu, agenda kuyambako okusasula “School Fees” z’abayizi 200 aba pulayimale mu disitulikiti ezenjawulo era okuyingira kwa 20,000 zokka.
Ku face Book, Bebe Cool agambye nti bwati “Finally, you haters have tomented my fans and guess what, i know you all want to see if I have support in Uganda. Well, i will return to stage performances starting this #BOXING_DAY_26th_Dec_TONDEKA_EKIWATULE_MUTIMA_GWA_ZABBU and the proceeds will go towards paying school fees for 200 primary children in a chosen district 2019“.

Bebe Cool yakoma okuyimba, nga 30, September, 2018 oluvanyuma lw’okukubwa obuccupa mu kivvulu kya Tarrus Riley e Lugogo era mu kiseera kino ali mu ggwanga erya America.