Kyaddaki Omuyimbi Bebe Cool ayanukudde abawagizi abagamba nti Bobi Wine amusinga mu buli kimu.
Bebe Cool, yasobodde okweyambisa omukutu ogwa Face Book, okulangirira ekivvulu Tondeka Ekiwatule Mutima gwa Zaabu nga 26, Desembe, 2018 kyoka abamu ku bagoberezi be, bamulumbaganye.
Abamu bagamba nti balina okuddamu okumukuba obuccupa, abalala bagamba nti tamanyi kuyimba ate abamu bagamba nti banyivu kuba alemeddwa okuwagira ekisinde kyabwe ekya People Power ekikulemberwa Bobi Wine.
Bebe Cool ku ky’okuwandiika ku Face Book abantu bangi ne bamuddamu, agamba nti tekyetagisa kusinga Bobi Wine abantu okumulumbagana ‘ebiyenje’ wabula alina kuwandiika ebirungi ebisinga ku muntu wabwe.

Ate ku nsonga y’abantu abamulumbagana ku nsonga ezenjawulo omuli okuyimba, ebyobufuzi, Bebe Cool abanukudde mu bukambwe mu ngeri ezenjawulo.




