Mu nsi yonna abakyala baagala nnyo omusajja ategeera omukwano kuba kiyamba abaagalana okuwangalira mu ssannyu.

Embeera eyo, y’emu ku nsonga lwaki Faridah Nakazibwe asoma amawulire ku NTV ne bba Dr. Omar Ssali omukwano gwabwe gweyongedde.

Kigambibwa bba Dr. Ssali awangalira mu Dubai kyoka buli lwakomawo mu Uganda, omukwano guddamu okutinta.

Enkolagana wakati wa Faridah ne bba Dr. Ssali kabonero akalaga nti buli kimu kitambula bulungi ddala era Faridah asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram, okulaga nti bba okumutwala okulya ku ssente (OUT) akikola mu mukwano omwereere.