Kyaddaki Jose Chameleone alabudde abayimbi nti bakoze kinene nnnyo okulemesa ekisaawe ky’okuyimba okulakulana.
Mu Uganda, Chameleone y’omu ku bayimbi abakwatiridde ekisaawe ky’okuyimba era abebuzibwako abayimbi abato.
Agamba nti Uganda erina abayimbi bangi nnyo abalina talenti abasobola okuvuganya mu nsi yonna kyokka enkaayana n’obutakwatagana biremeseza ekisaawe ky’okuyimba okututumuka.
Chameleone agamba nti abayimbi balina okwegata, okwewa amagezi, okusobola okutunda eggwanga lyabwe nga beyambisa ennyimba n’abawagizi okubawa ekitiibwa.

“The Ugandan music industry still lags behind because we artistes lack unity and togetherness. There’s just so much brewing hatred amongst artistes“, Chameleone alabudde abayimbi.
Wabyogeredde nga mu Uganda abayimbi bangi nnyo tebakwatagana omuli Bebe Cool ne Bobi Wine era ebigambo bye, bigenda kuyamba nnyo abaagaliza ekisaawe ky’okuyimba n’okutumbula talenti okweddako n’okuzaawo enkolagana.
Naye ku Bebe Cool ne Bobi Wine Kisoboka?