Munnamateeka wa Patrick Agaba eyakwatibwa ku by’okuwamba n’okutta Susan Magara, olunnaku olwaleero lw’agenda okutegeera ebikwata ku muntu we, oba asindikibwa mu kkooti enkulu okutandika okwewozaako.
Agaba yakwatibwa mu ggwanga erya South Africa kyokka Gavumenti ekyalemeddwa okumuzza mu Uganda era avunaanibwa ne banne omuli Abas Buvumbo, Yusuf Lubega, Hussein Wasswa, Muzamiru Ssali, Hassan Kato Miiro, Hajara Nakandi, Abubaker Kyewolwa, Mahad Kasalita ne Ismail Bukenya.

Sabiti ewedde ku lunnaku Olwokuna, oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Patricia Akello lwategeeza omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road Robert Mukanza nti bakomekereza okunoonyereza era bafunye ebiragiro okuva eri mukama we “Ssaabawabi wa gavumenti” abantu bonna abakwatibwa, okusindikibwa mu kkooti enkulu.

Wabula munnamateeka wa Agaba, Evans Ochieng, yawakanya nnyo eky’okusindika omuntu we mu kkooti enkulu nga taleteddwa mu kkooti esokerwako nti kimenya amateeka kuba omuntu we akyali mu ggwanga erya South Africa gye bamukwatira.
Omulamuzi yayongezaayo omusango gwo okutuusa olunnaku olwaleero ku Lwokubiri okusalawo ku nsonga eyo oba Agaba ateekebwa ku lukalala lw’abantu abasindikibwa mu kkooti enkulu okutandika okwewozaako oba okugibwako.