Poliisi y’e Jinja ezudde abaana b’obuwala basatu (3) abaali babula mu ngeri etaategerekeka kyokka basangiddwa nga bonna beefumbiza eri abasajja ba bodaboda n’abazimbi.

Abazuuliddwa kuliko Bridget Babirye myaka 12 ng’abadde asoma P6 ku Bupadhengo Day and Boarding Primary School, Allen Nabwire 16 asoma S2 ku Nakanyonyi Girls’ School, e Jinja ne Esther Aloyo 15 asoma S1 ku Glory Land Christian College, Jinja.

Esther Aloyo, Allen Nabwiire ne Babirye Bridget
Esther Aloyo, Allen Nabwiire ne Babirye Bridget

Abaana, babula ku ntandikwa y’omwezi gunno ogwa November era bazuuliddwa mu kikwekweeto kya Poliisi ng’eyambibwa abantu babuligyo e Bugembe mu disitulikiti y’e Jinja.

Omwogezi wa Poliisi e Busoga North Micheal Kasadha, agamba nti abaana basangiddwa n’abasajja abakulu era bonna bakwatiddwa ku misango gy’okujjula ebitanajja.