Kyaddaki Bebe Cool asimye omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni jjajja wa bazzukulu okufisaawo obudde okusisinkana, okuyozaayoza, okuwagira n’okusiima ttiimu y’eggwanga eya Uganda Cranes okuweesa eggwanga ekitiibwa.
Bebe era asiimye Pulezidenti wa FUFA Moses Magogo, omutendesi Sebastien Desabre n’abazannyi bonna okuzaayo Uganda mu mpaka za Africa mu 2019 mu ggwanga erya Cameroon.

Bebe Cool okuvaayo okusiima Pulezidenti Museveni kabonero akalaga nti y’omu ku bannayuganda abatakyukakyuka era mwetegefu okuwagira NRM wadde abamu ku bannansi n’okusingira ddala abawagizi b’ekisinde ekya People Power, bagala buli muntu yenna okudda ku ludda lwabwe.

Ku Face Book, Bebe Cool agambye nti “Congz to Uganda Cranes and thanks to you Mr president, our jajja for always taking time to meet,encourage and promote Ugandans in different sectors that put all Ugandans together in big numbers.
Credit to FUFA president Moses Magogo,the new Uganda cranes coach,all the Uganda cranes players, management and soccer funs”.