Kkooti ya Buganda Road esindise abantu 9 mu kkooti enkulu okwewozaako ku misango gy’okuwamba n’okutta Susan Magara.
Abasindikiddwa mu kkooti enkulu kuliko Yusuf Lubega, Hussein Wasswa, Muzamiru Ssali, Hassan Kato Miiro, Abas Buvumbo, Hajara Nakandi, Abubaker Kyewolwa, Imam ku muzikiti gwa Usafi Mahad Kasalita ne Ismail Bukenya.

Kkooti, ebadde ekubirizibwa omulamuzi Robert Mukanza, yategezeza nti eky’obutabaawo kwa Patrick Kasaija amanyikiddwa nga Patrick Agaba omu ku bajjulizi abakulu, tekiyinza kulemesa kkooti kusindiika abantu abalala mu kkooti okwewozaako.
Kasaija yakwatibwa dda mu ggwanga erya South Africa kyoka Gavumenti ekyalemeddwa, okumuzza mu ggwanga okuvunaanibwa.

Kinnajjukirwa sabiti ewedde munnamateeka wa Patrick Agaba, Evans Ochieng yawakanya eky’okusindiika omuntu we mu kkooti enkulu nga tasimbiddwa mu kkooti esokerwako.
Suzan Magara yawambibwa nga 7, February, 2018, omulambo gwe ne guzuulibwa oluvannyuma lw’ennaku 21, nga 28, February, 2018 nga gusuuliddwa mu nsiko ku kyalo Kitiko ku luggudo lwa Entebbe Express High Way wakati wa Kigo ne Kajjansi.