Abantu 8 bafiiridde mu Kabenje akagudde ku luguudo lwa Jinja-Iganga ku kyalo Namasoga ku ssaawa nga 4 ez’ekiro.

Okusinzira ku baduukirize, Takisi namba UAV 157E ebadde eva mu bitundu bye Jinja, eyingiridde Kosita namba UAT 805F ebadde eva mu bitundu bye Iganga, yonna nesanawo.

Abdul Kiyambe ku batuuze agambye nti akabenje kavudde ku Dereeva wa Takisi, Badru Lunobe abadde egezaako okuyisa Tuleela, kwekusanga Kosita mu maaso ge ate emmotoka zonna zibadde zidduka emisinde emingi nnyo.

Omu ku basirikale agaanye okwatukiriza amannya ge, akaatiriza nti 8 bafudde wadde tebanategerekeka bibakwatako, abafunye ebisago basukka 20 era batwaliddwa mu malwaliro okuli Jinja ne Iganga nga bataawa.