Poliisi mu ggwanga erya Morocco ekutte omukyala, agambibwa okutta muganzi we namutematema era n’amufumba, namugabula abantu abaali abakozi bannansi ba Pakistani mu ggwanga erya United Arab Emirates.

Kigambibwa ettemu lyakolebwa mu bbanga lya myezi esatu (3) egyakayita kyoka omukyala bwe yalwadde, abasawo kwekusanga erinnyo ly’omuntu mu kawago.

Poliisi yayitiddwa, omukyala myaka 30 yakwatiddwa nakiriza eky’okutta bba wadde abadde naye emyaka 8, kyokka eky’okumutematema, agaanye okubyogerako.

Kigambibwa Omukyala, yatta muganzi we bwe yali amusuubiza okuwasa omukyala omulala mu ggwanga erya Morocco.

Poliisi egamba nti ennyama y’omubiri gw’omusajja, omukyala yafumbirako omuceere, nagabula abakozi bannansi ba Pakistani eby’okulya n’ebyokunywa era bonna batendereza obuwoomi bw’emmere.