Poliisi y’e Jinja etandiise okunoonyereza ekyaviriddeko abaagalana okufa.
Abaagalana okuli Brian Masanka myaka 25 n’omuwala ategerekeseko erya Susan basangiddwa nga bafiridde mu nnyumba ku kyalo Mukwanga zone, Buwenge disitulikiti y’e Jinja ng’emirambo gyombi giri bwereere.
Omulambo gwa Masanka ne Susan gibadde givaamu omusaayi mu nnyindo ne mu matu.
Okusinzira ku ssentebbe w’ekyalo Francis Lukwanga, abatuuze bawulidde omwana mwaka gumu akabira mu nnyumba kwekumutemyako era bageenze okumenya ennyumba ng’abaagalana bafudde dda.
Omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kiira Diana Nandawula agambye nti abaagalana kirabika bafudde kiziyiro kyokka Poliisi etandiise okunoonyereza.
Emirambo gitwaliddwa mu ddwaaliro lya Buwenge health centre IV okwekebejjebwa.