Abavubuka babiri (2) basindikiddwa mu kkomera okusibwa omwaka gumu n’ekitundu ku misango gy’okubba number plates z’emmotoka mu bitundu bye Masaka.

Suleiman Ssentamu 20 ne Brian Mayanja 18 batuuze ku kyalo Kyazanga mu disitulikiti y’e Lwengo basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti esooka e Lyantonde, Abdullah Kayiza.

Okusinzira ku ludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Anthony Wamibi, Ssentamu ne Mayanja ne bannaabwe abakyanoonyezebwa benyigira mu kubba number plates z’emmotoka mu bitundu bye Masaka, Sembabule, Lyantonde, Lwengo ne Rakai nga basaba wakati w’emitwalo 100,000 – 400,000 okugikomyawo.

Omulamuzi Kayiza buli omu amusibye omwaka gumu n’ekitundu.