Omubaka w’e Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine asiimye abavubuka mu ggwanga Ghana, okuvaayo okulwana okukyusa obukulembeze mu Africa mu mirembe.
Bobi Wine bw’abadde asisinkanyeko bannansi agambye nti abavubuka mu Ghana bakoze nnyo okusasaanya demokulasiya mu Africa era singa balemerako, kigenda kuyamba nnyo abantu bonna okweyagala.

Olunnaku olw’enkya ku Lwomukaaga, Bobi Wine agenda kwogerako ne bannayuganda abawangalira mu ggwanga erya Ghana ku ssaawa 5 ez’okumakya ku OS AURORA APARTMENTS era asuubiza okuteesa ku nsonga ezenjawulo n’okusingira ddala ezitwala Africa mu maaso.

